Bya Mugula Dan
Waliwo abantu ababba ettaaka ya gavumenti nebalifula lyabwe nga tebalina mpapula zilikwatako.

Akakiiko akavunaanyizibwa okukuma ettaka lya gavumenti ka Uganda Land commission kavudenyo n’ekategeezza nti sikakutira muntu yenna kuliiso nga ababba ettaka lya gavumenti eriri mumateeka okutundde ebintu eby’omugaso nga layiini zamasanyalaze ,okuli ebibira ,n’ettaka okuli omuddumu gwamafuta nga batandise okulondola ettaka lino okwetorora egwanga lyonna okulaba nga balikuma
Kamisona Tom John Fisher Kasenge wabadde mulukungaan lw’abamawulire ku media centre mu Kampala agambye nti tebalina lukanganga lwabiwandiko bikwata kuttaka dyona elya gavumenti era bakola ekisoboka okufuna kalonda yenna akwata ku ttaka lino okuliwonnya ababbi abalitwalira kubwerere.
Kasenge ategeezezza nti batandise okutalanga mu disitulikiti zona okuli obukiiko bw’ettaka okusomesa abakulira eby’ettaka kumagomborola gonna mu Uganda okukolera awamu okulamba nga bakuma ettaka yagavumenti okuliwonnya ababbi.
Ono agambye nti akakiiko ka Uganda land commission kawandiikira ba tawuuni kirakka abali ku disitulikiti babawereze amawulire agakwata ku ttaka ya gavumenti buli gyeriri basobole okulifunira ebyapa ebitufu n’okuyamba okutubula empereza enungi mugwanga dyatu Uganda.
Kasenge agamba nti akakiiko ka Uganda land commission kagala kutereza olukaalara lw’ettaka okutundde ebitongle bya gavumenti nga amasomero ,amalwariro, enguudo ,okutangira abbabi obutatwala ttaka lino okusobola okulikuma nga lilina ebiwandiko ebitufu.
Tom John Fisher ategeezezza nti olukalara luno lw’ebagala okufuna lugenda kuyambako abantu ababadde balina liizi ku ttaka ya gavumenti kyoka nga tebayita mumitenddera mitufu nga kino okufuna ebiwandiko byettaka dya gavumenti kigenda kuyamba yonno .