Poliisi mu kibuga Gulu ekutte abantu 41

Bya Mugula Dan

Poliisi mu kibuga Gulu ekutte abantu 41 anagambibwa nti beenyigira mu kulumya, okunyaga n’okukola effujjo ku batuuze nga 6 omwezi guno, Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu lweyali mu bitundu by’eyo ng’anoonya akalulu k’obwapresident.

Omwogezi wa Poliisi mu Aswa-Gulu Afande Ongom David Mudong agambye nti okukwata abantu bano baasoose kwetegereza butambi bwabwe n’abakessi ababayambye okulondobayo abantu bano.

Ategeezezza nti abakwate bonna bakuumirwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso olwo balyoke basimbibwe mu kkooti.

Agambye nti akabinja kano balowooza nti kaali kaduumirwa Fatuma Aleng gwalumirizza nti yakozesa emikutu okuli TikTok okukunga bano okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *