Pulezidenti w’ekibiina ki UPC Jimmy akena akubirizza Bannayuganda okulonda abakulembeze abanaayamba Uganda okukulaakulanya eggwanga so si abanaafuukira abantu ekizibu nga benyigira mu buli bw’enguzi.

Jimmy Akena
Wabadde ayogerako n’ebanamawulire ku kitebe ky’ekibiina ki UPC ku Uganda house mu Kampala, Akena akunze Bannayuganda okwagala ensi yaabwe n’okukuuma eggwanga lireme kugwa mu mikono gy’abalina emize gy’enguzi.
Jimmy akena yasabye Bannayuganda obutalonda bantu abanaatawaanya eggwanga Uganda wabula blonde abo abagala ensi yabwe.
Ono ategeezezza avuddeyo n’asaba bannakibiina naddala ababadde mu nkambi ewakanya obukulembeeze okussa ebbali obumulumulu bamwegatteko batwale ekibiina mu maaso.