Ddereeva wa Taxi abadde avuga ng’atamidde asindikiddwa mu kkomera

Bya Mugula Dan

Ddereeva w’emmotoka ekika kya Taxi nnamba UBB 869T abadde avuga ng’atamidde asindikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja nga 05, January ng’ono munnamawulire AndrewMwenda  yamwekengedde namuyimiriza olw’okuvugisa ekimama.

Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi y’ebidduka, Michael Kananura , ddereeva ono olwayimirizza emmotoka nagezaako okudduka wabula nebamwanguyira okukakkana nga bamukutte nebamutwala ku Poliisi.

Ono baamukebedde nebasanga nga yanywedde omwenge mungi naye kyeyakkirizza era oluvannyuma nebamuggalira.
Kananura asabye abantu okukola nga Mwenda bakolagane ne Poliisi okumalawo obubenje kubanga kitaasa obulamu bw’abantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *