Zinaddookunywa mu kalulu ka 2026

Bya Mugula Dan

Banna kibiina kya NUP abayaayaana okukwatira ekibiina kyabwe bendera ku ky’omubaka omukyala owa Kampala; Hon ShamimMalende  ne Sipiika wa KCCA  ZahrahLuyirika  basisinkanye ku kitebe ky’ekibiina nebeeyama okusoosowaza ensonga z’obumu n’ekibiina kyabwe.


Ababiri bano bawabudde abawagizi baabwe naddala ab’okumutimbagano ababadde batandise okwejjirayo ebiso okukkakkana ekibiina kisalewo anaakikwatira bendera.


Abakulu mu kakiiko ka NUP ak’ebyokulonda kalabudde nti ssinga bano tebakoma ku bawagizi baabwe, bombi baakuggyibwa mu lwokaano!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *