Wuuno akulira okuteekerateekera ekibuga kya Lira asindikiddwa ku alimanda

Bya Mugula Dan

Eyali akulira okuteekerateekera ekibuga kye Lira, Omara Geoffrey n’omusuubuzi omututumufu mu kibuga kino, Okello Lawrence basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 6 omwezi ogujja ku misango okuli ogw’okukozesa obubi woofiisi, okujingirira ebyapa, okwesenza ku ttaka ly’ebibira n’emisango emirala egyekuusa ku bufere. 

Kino kiddiridde ababiri bano okukwatibwa akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti akalwanyisa obuli bw’enguzi ka State House Anti-Corruption Unit nga kakolagana n’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wamu ne woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti nekabasimba mu kkooti ewozesa Abalyake n’abakenuzi.

Kigambibwa nti Omara Geoffrey yakozesa woofiisi ye n’awandiikira akakiiko k’ebyettaka mu Lira nga akategeeza nga akakiiko akateekerateekera ekibuga kino bwekaali kakkirizza eky’okugaba liizi ku ttala ly’ebibira mukitundu ekintu ekitaali kituufu. 

Kuno kweyagatta okujingirira ekyapa kya Lira Central Forest Reserve nakiteeka mu mannya ga munne Okello Lawrence. 

Ebizuuliddwa biraga nti Omara aludde nga akwatibwa mu mivuyo gy’okutunda ettaka lya gavumenti n’okwonoona obutondebwensi era ng’emisango egimu gyamusinga. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *