WALIWO ABAFERE ABEYITA ABASUBUUZI ABAGALA OKUTUGYA KUMULAMWA- KABANDA

Bya mugula Dan

Akulira ekibiina kya basubuuzi ekya federation of uganda traders association futa John Kabanda ayanjudde by’ebasobodde okukola mumwaka guno ogwa 2024 saako n’ebibasomoozeza nga abbo abasubuuzi .

Bamemba FUTA

Kabanda ategezeeza banamawulire ku woofiisi z’ekiibina kino futa nti abasubuuzi basobodde okubalwanilira kusonga ezenyawulo ezibadde zibasomooza omuli ekitongole kya URA  okubabinika omusoro omungi ate nga tebalina simbi zisobola kusasula musoro nga bbo ekibiina ekyagala obwekanya kyadduka mangu ow’omukulembeze w’egwanga n’ekimutegeeza kusonga y’omusolo omungi URA gw’ebabinika ekizibu kino nekivawo.

Era waliwo n’ekizibu kya efris eyali efukidde abasubuuzi omutawana gweyini naye mukuyita mubakulembeze bekibiina FUTA basobola okusisiikana abakulu mu URA  ne pulezidenti Museveni nebasobolara okugonjola omutawana ogwali omunnene ogwa efris nga FUTA  yekulembeddemu abasubuuzi bonna mu uganda Kabanda wa tegezeezza

Kabanda agambye nti FUTA  esobodde okulwanilira abapangisa mubizimbe kuba abaggaga babadde balisa abasubuuzi akakanjja nga babajjako ssente yingi nabamu ku basubuuzi bawabibwako ebintu byabwe owatali ayaba kino FUTA  yasobola okwatagana n’abasubuuzi bonna okuloopa abaggaga mu makkooti era emisango mingi gyebawangudde.

FUTA  esobodde okwatagana nabatebenyi bonna abakolera kunguudo zomu Kampala okubafunila obutale webayiza okubera nga nabo webafuna ssente okupangisa amadduka basobole okuva kuguuddo Kabanda wagambye.

Kabanda agambye nti abasubuuzi baludde nga bemulugunya ku bachayina abatwala ebintu ebali wekibuga Kampala nebatuddanyo ebintu kubenyi eyawansi ekitali kituffu naye basobodde nga bbo ekibiina kya basubuuzi ekya FUTA  okutwala okwemulugunya kuno owa Minisita wa trade akole kukizibu kino era omwaka ogujja tewali bachina kutunda bintu mubyaro.

Ono agambye waliwo abefula abasubuuzi abagala okwaburuzamu bannabwe abegatila mu FUTA  nga beribika nti bebakulembeze babasubuuzi kyoka nga tebalina wadde edduka mu kibuga nti bebabanyi ebizibu bya basubuuzi,bano abayise baffere abenoyeza ebyabwe.

gye buvuddeko waliwo ekibiina kya basubuuzi  KATA  ekyavanyo mulujjudde nti abasubuuzi kyebalinamu esuubi okwasangaya ebizibu byona ebiruma abasubuuzi mugwanga uganda

FUTA omwaka ogutaddika ogwa 2025 tegenda kusa mukono okutusa nga ensonga z’abasubuuzi nga zigojjoddwa Kabanda

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *