Wabaluseewo obutakkaanya wakati wa Minisita Namuganza n’omubaka Naigaga beyogeredde ebisogovu mumaso ga Tanga Odoi

Bya Mugula Dan

Obutakkaanya bubaluseewo wakati wa minisita Persis Namuganza n’omubaka omukyala wa Disitulikiti ye Namutumba Mariam Naigaga  nga bulyomu n’alangira munne okwetaba mumivuyo gy’akalulu k’ekibiina ki NRM e Busoga Nsadhu Memorial Technical Institute ekyaletera akamyufu k’ekibiina okusazibwamu.

Minisita Persis Namuganza

Olwaleero ebiwayi bibiri okuli ekya minisita Persis Namuganza ne Mariam Naigaga bayitidwa akulira akakiiko k’ebyokulonda mukibina Kya NRM Dr Tanga Odoi okugogyola obutakkaanya obwava mukamyufu mu kulonda obukiiko bwabwe nga obutakkaanya buno buva kubifo bibiri okuli ekya eky’omumyuka wa ssetenbe ye Namutumba ne  ky’amawulire.

Kukifo Ky’omumyuka wa Ssentebe we Namutumba kwaliko abantu 2, Menya Simon mukamyufu yafuna obululu 489 nga Ono ali kuludda lwa minisita Namuganza ate Naigaga yafuna obululu 108

Mariam Naigaga

Minisita Namuganza agambye nti omubaka Mariam Naigaga bamuwangula mukamyufu kyoka n’awakanya ebyavamu nga bekwasa nti abalozi tebali bamukitundu ekyo.

Namuganza amulabudde okuzzayo empiisa  z’eyavanazo mu FDC kuba bagala konona kibiina kya NRM nga baliwamu ne Sipiika ky’atagenda kukiriza.

Ono akalabidde nti bo tebagenda kudamu mulundi mulala kulonda kuba bawangula misana nga n’ensi eraba.

Ate omubaka Mariam Naigaga agambye nti ketonye ka gwake balina okudamu okulonda ebifo ebibiri kuba Minisita Namuganza yasomba abantu abatali bamukitundu kyabwe nokuwa abantu ssente okulonda omuntu we ekyavirako abantu okuyiwa akalulu kano

Akulira akakiiko kebyokulonda mukibina Kya NRM Dr Tanga Odoi abagambye nti kakiiko kagenda kugonjoola emivuyo gyona era nabalagira ababadeko okusigarako nga w’ebetegereza ensonga zinno .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *