Uganda erimu emirembe tewali muntu yenna agenda ku gitabangula-Babalanda

Bya Mugula Dan

Ku Monday ya wiiki ejja nga 26 lwe lunaku lw’ameenunula olw’omulundi ogwa 40.
Olunaku luno olumanyiddwa nga NRM/A Liberation day lukuzibwa buli mwaka ng’ennaku z’omwezi 26 January okujjukira Gavument ya NRM lweyajja mu buyinza.
Minisita w’ensonga za President Hon Milly Babalanda agambye nti emikolo gy’omwaka guno gyakukulizibwa ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo.


Agambye nti ku lunaku luno waliwo bamwoyo gwa ggwanga 33 abanaaweebwa emidaali okubasiima olw’ettofaali lyebaateeka ku lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *