Twagala obuwumbi bwa silingi 800 okuziimba emyala mu Kampala okulwanyisa amataba-KCCA

Minisiture ya Kampala yetaaga ensimbi obuwumbi 800 okuddaabiriza n’okuzimba emyaala egituukana n’omutindo,  okukendeeza ku mataba aganjaala mu kibuga Kampala buli nkuba lwetonnya.

Abakungu okuva mu ministry ya Kampala nga bakulembeddwamu Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ne ssenkulu wa Kampala Sharifah Buzeki batwalidde akakiiko ka Parliament akavunaanyizibwa ku byobuzimbi embaririra yabwe gyebetaaga mu mwaka gwe by’ensimbi ogujja 2025/2026.

Okusinziira ku Minisiture ya Kampala betaagayo ne nsimbi ezitalinda obuwumbi 26 okutereeza emyaala egyayonoonese mu nkuba ebadde efuddemba ensangi zino.

 Bagamba nti zino singa tezibaweebwa embeera eyinza okwongera okwononeka naddala singa enkuba yeyongera okutonnya.

Ministry eno era eriko ensimbi endala zeeyagala nga kuno kuliko obuwumbi 6.1b ezokuwa bakalondoozi abanalondoola emyaala  egikolebwa n’enguudo,  ngokwo kwotadde abakugu abebuzibwako ku mulimu gw’okuzimba emyaala  kko n’obuwumbi obulala 120 okumaririza enguudo 19 mu Kampala ezikyazimbibwa.

Wabula ababaka okubadde owa Mukono South Fred Kayondo n’omubaka wa Ntoroko,  Ibanda  Rwemulikye  bakubye ebituli mu nteekateeka eno nga bagamba nti parliament nebwewa KCCA obuwumbi n’obuwumbi bw’ensimbi, Kampala tesobola kutereera okutuusa nga bakyusizza  plan y’ekibuga .

Bagamba nti abakwasibwa emirimu gy’okudaabiriza ekibuga bakola nkola  ya gadibe ngalye ngakino kyekivuddeko enguudo n’emyala okwonooneka mu bwangu.

Ssentebbe w’akakiiko kano era Omubaka wa kazo county Dan Kimosho bano abanenyezza aba KCCA olwobutaba na nteekateeka  nnungamu eri ekibuga, nga nokutuusa olwaleero ekibuga kikyatawanyizibwa ebizibu kyamataba.

Kimosho agamba nga akakiiko kaakuddamu okubasisinkana bongere okulaba engeri ensimbi zebetaaga gyezigenda okukozesebwamu.

Bya cbs

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *