Bya mugula @namubyenews
Mu Kutongoza Emisinde gya “Rotary Cancer Run” 2024, Awaddeyo Akawumbi kamu okumaliriza “Bunkers“
Sipiika wa Palamenti, Anita Among atongozza mu butongole emisinde gya Rotary Cancer Run 2024 n’awaayo akawumbi kamu okumaliriza ekifo kino eky’okujjanjaba obulwadde bwa radiotherapy mu ddwaaliro lya St. Francis Nsambya.
Among atuuse e Nsambya enkya ya leero, gye yayaniriziddwa abaddukanya eddwaaliro n’abategesi b’emisinde gya kookolo egya Rotary nga tannalambula waadi ya kookolo n’ekifo we batereka.
Mu kwogera kwe, Sipiika yasiimye enteekateeka y’okudduka kookolo mu kuweereza obuntu era ku lwa Palamenti, abawagizi b’emisinde gino egy’omutindo ogwa waggulu, beewaddeyo okuwagira pulojekiti eno okuggwa mu budde.
“Nga Palamenti etunuulidde abantu, tugenda kuwagira n’omutima omugabi okumaliriza obunkers era tusaanidde okusobola okugimaliriza amangu ddala kubanga bwe kinaaba kiwedde, kijja kuleeta akamwenyumwenyu mu ddwaaliro ly’e Nsambya, abalwadde ba kookolo, abaddusi bonna n’aba Rotarians ,” Among bwe yategeezezza, nga tannaba kweyama kwegatta ku Rotary ku lw’obulungi bwa “bunkers.
Empaka za 2024 ezigenda okubeerawo nga 25 August 2024 e Kololo kukisaawe, zaakuweza emyaka 13 egy’empaka za “Rotary Cancer Run” wansi w’omulamwa ogugamba nti: “Spread Magic in Every Step.”
Yasabye Bannayuganda bonna ab’omutima omulungi okwegatta n’okuwagira pulojekiti eno okuleetawo akakwate akakulu ku bulamu bw’abalwadde ba kookolo.
“Pulojekiti eno egenda kuyamba mu kujjuliza obujjanjabi bwa kookolo n’okukendeeza ku mugotteko gw’amalwaliro amalala Ku lwa Palamenti, tugenda kuwaayo akawumbi kamu mu kuddukanya emisinde gya kookolo egy’omwaka guno. Ssente zino ze tufuna mu kuwaayo zirina okusaasaanyizibwa ku buntu,” bwe yagambye.
Mu baasiimiddwa eyali Sipiika, Rebecca Kadaga olw’okukulembera kampeyini za Palamenti ez’okuwagira emisinde gya kookolo mu Palamenti ey’ekkumi.
Palamenti z’ewaayo akawumbi kamu kwokka kumpi zenkana akawumbi kamu n’obukadde 100 ezaakunganyizibwa mu misinde gya kookolo mu 2023.
Omwaka guno, “Rotary Uganda” esuubira okusolooza obuwumbi buna n’okukubisaamu emirundi ebiri omuwendo gw’abantu abeetabye mu mpaka zino okuva ku 30,000 mu 2023 okutuuka ku 60,000 mu 2024.