Bya Mugula Dan
Ttabamiruka w’ekibiina ki Alliance for National Transformation (ANT) atuuziddwa ku Tal Cottages e Lubaga ng’okusinziira ku mwogezi w’ekibiina kino, Hon. Gerald Karuhanga, ttabamiruka ono agendereddwamu okukuba ttooci mu ngeri gyebatambuzzaamu emirimu okuva mu 2019 ekibiina kino lwekyatandikibwawo n’okukubaganya ebirowoozo ku biseera ebyomumaaso naddala ku nkwata y’akalulu ka 2026.

Ttabamiruka ono yeetabiddwamu n’abamu ku bakulira ekibiina ki People’s Front for Freedom (PFF) nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina era Loodimmeeya wa Kampala, Erias Lukwago.
Kinajjukirwa nti ANT ne PFF batta omukago nebabagawo enkolagana ey’enjawulo.
