Tewali muntu yenna agenda kola fujjo mu kiseera ky’okulonda-Kabyanga

Bya Mugula Dan

Gavumenti egumizza abagwira abawangaalira mu Uganda ku mbeera y’ebyokwerinda byabwe mu kiseera ky’okulonda nebwekunaaba kuwedde.

Bya Mugula Dan

Minisiter omubeezi ow’amawulire n’okulungamya eggwanga Hon Kabyanga Godfrey Baluku asinzidde mu nsisinkano n’abakwanaganya b’ebyobufuzi n’amawulire mu bitebe by’amawanga amalala wano mu Uganda mu Kampala n’abagumya nti tebasaanye kweraliikirira kubanga eby’okwerinda byabwe n’ebyeggwanga lyonna okutwalira awamu biri guluggulu.

Kabbyanga azzeemu era okugumya banna Uganda ku nsonga y’amayengo ga Internet n’agamba nti gavumenti terina nteekateeka yonna y’akugajjako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *