Bya Mugula Dan
Wabadde okuwanyisiganya ebigambo ebisongovu wakati wa Brig Gen Emmanuel Rwashande n’omubaka we Lwemiyaga Theodore ssekikubo bulyomu ng’alumiriza munne okutta Fred Ssembuusi eyali omuwagizi w’oludda olwomu nga yakubibwa amasasi.

Olunku lweguro kulwokusatu akulira akakiiko k’ebyokulonda mukibiina ki NRM Dr .Tanga Odoi yabayiise mulukiiko okumalawo obutakkanya wakati wa brig gen Emmanuel Rwashande ne Theodore Ssekikubo nga bulyomu alwana okufirawo okuba omubaka we Lwemiyaga county Ssembabule disitulikiti ekiresewo obunkenke mubantu mukitundu ekyo.

Brig Gen Emmanuel Rwashande yalumiliza omubaka Ssekikubo okwenyigira mukutta omuntu nokutekawo efujjo mukitundu kwosa abawagizi be okulumba abaserikale okubabako emmundu .
Rwashande yalazze obukambwe mulukiiko yategeezza nti kagwake ketonnye tagenda kukirizza kukuba kampeenyi eyekwegata kukaddala kamu ne ssekikubo kuba omubaka ono amaze emyaka 25 nga yenyigira mukutulugunya abantu e Ssembabule.
Ate omubaka Ssekikubo mukogerakwe mulukiiko yategeezze Gen Rwashande nga bwe yalagira abaserikale okutta omuwagizi we n’okutekawo efujjo n’obunkenke mukunoonya akalulu.Ono agambye nti bali bagenderedde kutta ye, mubyobufuzi e Ssembabule era yayogedde kaati nga omusezi agula ensowani tagenda kukuba kampeenyi ey’okwegatta ewamu ne Gen Rwashande.
Dr.Tanga mukw’ogerakwe mulukiiko yategeezezza nti Gen Rwashande ne ssekikubo balina okulaga empiisa nga bali mu kampeenyi, bulyomu alina okulaga olunaku lwayina okubirako kampeenyi okusagula obuwagizi era bonno ababiri yabagambye okukomawo ku lwokuna okutanya ensonga.
Yabalabudde obuteetantala kuddamu kulwana nakuyiwa musaayi gwa bantu abatalina musango w’ebatakikomye wakuyimiriza kampeyini z’akamyufu k’eLwemiyaga couny, Tanga w’eyagambye.