Sipiika wa KCCA awaliriziddwa okuyimiriza olutuula ku bakansala abaganye okujja mulukiiko

Bya namunyenews

Enkiiko z’olukiiko lw’ekitongole kya “KCCA” zikyagenda mu maaso n’okugwa nga bakansala abawerako basuulawo emirimu gyabwe olw’obussente obutono bw’ebafuna nga abarozi babasaba obuwereza nga kigambibwa nti abamu badduka mu ggwanga oluvannyuma lw’okulayira.

Bakansala nga bali mulukiiko ku “city hall” mu Kampala

Wabula bakansala be bamu bakyagenda mu maaso n’okuggya emisaala mu ggwanika lya gavumenti.

Sipiika w’ekibuga Zahara Luyirika ku Lwokubiri yawaliriziddwa okwongezaayo olukiiko oluvanyuma lw’okulemererwa okusonda omuwendo gw’ababaka ogwetaagisa.

Olukiiko luno olulimu bakansala 54 okuli ne Lord Mayor, lwetaaga bammemba abatakka wansi wa 27 okusobola okutuula.

Wabula bakansala 12 bokka be bazze okutuula ku Lwokubiri.

Agavaayo galaga nti abamu ku bakansala abatazze mu lukiiko luno baava ku mirimu gyabwe ne bagenda ebweru w’eggwanga ng’abamu ku dda emyaka ebiri egiyise.

Mu September w’omwaka oguwedde, Sipiika Luyirika yawandiikira Lord Mayor Erias Lukwago ng’agamba nti bakansala baali bagenze ku luwummula lw’okusoma n’okujjanjaba.

“Abantu bano bali mu luwummula era baagoberedde enkola entuufu,” Luyirika bwe yawandiise nga September 5.

Nga September 8, 2023, akulira KCCA, Dorothy Kisaka yaleeta ekiteeso nti ebifo bya bakansala ba AWOL birangirirwe nga tebiriimu bantu.

Wabula ekiteeso kino kyawakanyizibwa minisita w’eggwanga owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, n’agamba nti bakansala abaabuze baabadde bagenze mu luwummula olutongole.

Yinginiya David Luyimbazi yategeezezza Namunye News nti obuvunaanyizibwa bw’okukakasa nti bali mu luwummula lw’okusoma buli gye bali.

“Bwe banaakikola olwo tujja kubazzaayo,” bwe yagambye.

Bakansala aboogeddwako nga kigambibwa nti basoba mu 30 – omuli n’abava mu divizoni endala nga Rubaga, Makindye, Kawempe ne central division – baawaaba Minisita Kyofatogabye oluvannyuma lwa KCCA okuziba emisaala gyabwe.

Minisita yasibye ku ludda lwa bakansala.

Buli omu ku bakansala afuna obukadde bwa silingi 3.5 buli mwezi, nga zino ziggyibwa mu nsawo eno ekwataganye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *