Bya Mugula Dan
Munnakibiina ki FDC, Noma Suzan Otai eyali yeegwanyiza ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea, akubye Sipiika wa Palamenti Anita Among n’akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka nga abalanga kumulemesa kuvuganya ku kifo ekyo.

Otai agamba yaggalirwa ebweru wa woofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda bweyali agenze okwewandiisa wakati mu byali biyitingana nti tasaana kuvuganya ku kifo ekyo mbu ssimulonzi mu kitundu era gyebyaggwera nga tawandiisiddwa.
Ono ayongerako nti yeekubira enduulu eri kakiiko k’ebyokulonda ku nsonga eno kyokka natayambibwa nga wano waayagalira kkooti eyimirize okuwandiisa Sipiika Among mu kitabo ky’ebiwandiiko bya gavumenti ekitongole ng’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea ekisanja ekijja ekya 2026 – 2031 okutuusa nga akakiiko k’ebyokulonda kawadde ensala ku nsonga eno.
Otai era alumiriza Sipiika Anita Among okutaataaganya enteekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda era gwe musango ye gwamuvunaana.