Sebamala yewera okumegga Norbert Mao mu kalulu k’ekibiina ki DP

Bya Mugula Dan

Omubaka wa Bukoto Central mu Palamenti, Richard Sebamala era nga yomu kubeegwanyiza obwa Ssenkaggale bwa DP atuukidde mu maanyi ku Asamar Hotel mu kibuga Mbarara ewategekeddwa Ttabamiruka w’ekibiina mwebagenda okulondera abakulembeze b’ekibiina. 

Sebamala awera nkolokoto okumegga Norbert Mao wadde ng’akulira eby’okulonda mu DP, Kennedy Mutenyo yategeezezza bannamawulire nti Sebamala yali agobeddwa mu lwokaanao olw’okuba nti tannaba kuweza myaka gyasalira mu kibiina nga Ssemateeka wa DP bwalambika

Olwaleero Ttabbamiruka we kibiina kya Dp bukyanga kitandikibwawo atandise nga 30 May,2025 e Luti mu disitulikiti ye Mbarara.

Obukeke bukyali bw’amaanyi nga abegwanyiza obwa Ssenkaggale bwa DP bagamba nti tebanalaba ku nkalala zaabagenda kulonda era tebabitegera

Ttabbamiruka watuukidde banna Dp balina obutakkaanya mu kibiina kyabwe oluvanyuma lwa Ssenkaggale wa DP Nobert Mao okukitwala mu NRM nebamuwamu obwa minisita.

Omukulembeze wa DP Nobert Mao yagmbye nti abantu tebasanye kutya nti poliisi egenda kubawa obukuumi nga balonda buli eyetaby mu ttabbamiruka ono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *