Bya namunye news
Abadde yeegwanyizza palamenti, NUP emusindise ku bwa meeya bwa Namugongo Division.
Abatuuze ku byalo bibiri okuli Kiganda ne Kasokoso ebisangibwa mu Namugongo Division mu Kira Municipality, basabye mu kalulu akagya mu 2026, ssentebe wa division eno ave mu kitundu kyabwe kubanga babadde balekeddwa emabega .

Peter kazibwe eyegwanyizza obubaka bwa palamenti
Bino abatuuze babyogeredde mu lukikko lwe baatuzizza ku Makula Guest House e Kiganda, mwebasisinkanidde abakulembeze abegwanyizza ebifo eby’enjawulo ku kkaadi ya NUP mu Kira Municipality
Ku mukolo guno abatuuze b’e Kiganda ne Kasokoso basizza kimu ne basabye banaabwe ku byalo ebilala esigadde 18 ebikola division y’e Namugongo okubegattako mu kalulu akanatera okutuuka balonde ssentebe wa division eno ng’ava mu bitundu byabwe , kubanga bukya nga Namugongo division etandikibwa mu 2016 ba ssentebe bonna abasoose okugikulembera , okuli Gaster Mukasa owa DP nga ono yeyasokera ddala mu kalulu ka 2016 yali ava Kireka A , nagibwayo Ronald Nkalubo Bulega owa NUP mu kalulu akawedde mu 2021 ava Kimuli A ekiviriddeko ab’e Kasokoso ne Kiganda okwekubira enduulu nti mu kalulu akadako bagala ssentebe ave mu bitundu byabwe
Abatuuze basinzidde ku mukolo guno nebegaylirira Yinginiya Salongo Peter Kazibwe abadde yegwanyizza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kira Municipality ku kkaadi ya NUP ave ku kifo kino , alumbe ku kifo kya ssentebe wa division y’e Namugongo kubanga mwana nzalwa y ‘e Kiganda amanyi ebizibu ebisinga okubaluma omuli emyala egyetaaga okuzimba ne nguudo eziwogomose nga ebizibu bino bikolebwako Namugongo Division

Abakulembeze ba NUP okuli Saalongo Peter Kazibwe
Peter Kazibwe mu kwogerako eri abatuuze b’e Kiganda ne Kasokoso ategezezza nti wekuba nga kwekusaba kwa batuuze ate nga gemanyi g’abantu asazeewo naye alumbe ku kifo ky’obwa ssentebe wa division y’e Namugongo ,Kazibwe awera nti okugyakwe kuwagiddwa abamu ku banene mu kibiina kya NUP olw’okuba yasinga obuganzi mu bantu era mu kakafu nti kaadi ku kifo kino emuri mutaano.
Kazibwe wasaliddewo okuvuganya ku kifo kino ,waliwo banna byabufuzi abaali balaga edda obwetavu ku kifo kino ku kkaadi ya NUP okuli Ronald Nkalubo ali mu kifo kino ne Sarah Nasimbwa abalala abagala kuliko Prossy Nakanwagi amanyiddwa nga akameggwa enjovu era nga ye kkansala wa Kamuli Lubaawo ku Kira Municipality, ne David Ssekiziyivu nga bano balwanirira kaadi ya PFF..
Ku mukolo guno kwetabiddwako ne Jimmy Lukwago amanyiddwa nga Kira Young eyegwanyizza ekifo ky’omubaka wa Kira Municipality ,eyasabye wabeewo abakulembeze b’e Kira abegwanyizza ebifo eby’enjawulo bategeke olukikko aluteekemu ssente abeesimbyeewo ku bifo ebyo beerage amanyi .