Pulezidenti wa NUP azizzaayo empapula ku kakiiko k’ebyokulonda

Bya Mugula Dan

Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu azizzaayo empapula eri akakiiko k’ebyokulonda eziriko emikono gy’abantu abamusemba okuvuganya ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2026.


Kyagulanyi akiikiriddwa Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya ng’ono ategeezezza nti emikono gyebawaddeyo giyisizza mw’egyo akakiiko k’ebyokulonda gyekaabasaba ekitegeeza nti abantu beetegefu okuleetawo enkyukakyuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *