Bya mugula dan
Abakulembeze ba NUP nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina, Robert Kyagulanyi Ssentamu, Ssaabawandiisi, David Lewis Rubongoya, n’Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palameni, Joel Ssenyonyi bawuubyeko olubu lw’ekigere ku kkomera e Luzira okulambula ku munnabyabufuzi Dr. Kizza Besigye ali ku alimanda oluvannyuma lw’okuggulwako emisango 4 egyekuusa ku kuyeekera gavumenti eno n’okutabangula eb’yokwerindda
Nga abakulembeze ba NUP bakava ku kkomera e Luzira ate bannakibiina kya FDC ekiwayi kye Katonda, batadde government ya Kenya ku nninga ebannyonyole ku ngeri munnabwe Dr.Kiiza Besigye gyeyawambibwamu e Kenya nakomezebwawo e Uganda nga teyeyagalidde.
Besigye yawambibwa ku woteeri ya Riverside apartments mu Kibuga Nairobi ne Hajji Obed Lutale, nga 16 November,2024, bweyali agenze okwetaba ku mukolo gw’okutongoza akatabo akawandiikibwa munnabyabufuzi Martha Karua.
Baagenze okuddamu okulabika nga bali mu kooti y’amagye gyebagguddwako emisango gy’okusekeeterera gavumenti, n’okunoonya obuyambi bw’ebyokulwanyisa e Switzerland ne Greece.
Waliwo ne bannaFDC abalala 38 abaakwatibwa e Kenya era nabo nebakomezebwawo mu Uganda nebaggulwako emisango gy’okusekeeterera government, wabula bbo bagamba nti baali bagenze kubangulwa mu nsonga z’eby’obufuzi.
Omubaka wa Kira municipality era munnaFDC Ibrahim Ssemujju Nganda omu bagenze okulambula ku Besigye ne munne mu kkomera, agambye nti bababuulidde ebyaliwo nga bakwatibwa.
Annyonyodde nti abaabakwata baabasanga mu lukiiko n’abantu abalala bebaali nabo, nebalondamu Besigye ne Lutale.
Bwebaabakwata babateeka mu mmotoka eriko ennamba za Kenya, nga bogera luswayiri, nebabavuga okutuuka ku nsalo e Malaba, baatukawo essaawa mwenda ogw’ekiro, era baajanga babayimiriza mu bifo ebyenjawulo.
Oluvannyuma babaateeka mu mmotoka endala okutuuka e Kampala gyebagguddwako emisango egyenjawulo, era nebasindikibwa ku alimanda e Luzira.
Banna FDC e Katonga basazeewo okutambuza ebigere ku monday nga 25 November,2024 boolekere ekitebe kya Kenya mu Uganda, abaayo babannyonyole ensonga eziviirako ensi yabwe okukkirizanga bannaUganda abagenyiwala yo okuwambibwa ebitongole bya Uganda ebikuuma ddembe.
Bagala Kenya ebategeeze nti mu butongole oba nga bannakibiina kya FDC e Katonga kati tebakyakkirizibwa kugenda mu ggwanga lyabwe.
Mu ngeri yeemu bannamateeka ba Besigye nga bakulembeddwamu Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era nga ye president wa FDC Katonga ow’ekiseera, nabo baagenze Nairobi mu Kenya okusisinkana ba nnamateeka baayo abenjawulo n’ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu, n’okuvunaana government ya Kenya olw’okulinnyirira eddembe ly’omuntu wabwe eyayingirayo ng’ayita mu mateeka