Pulezidenti wa NEED Joseph Kabuleeta atiisizza okutwala FDC mu kkooti ku mubala .gw’ekibiina

Bya Mugula Dan

Ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue NEED kirumiriza ekibiina kya Forum for Democratic Change FDC n’omukwasi wa bendera ya Pulezidenti, Nandala Mafabi mu ngeri emenya amateeka okukozesa omubala gwakyo omutongole, “ssente mu nsawo yo,” ky’egamba nti kiwandiikiddwa mu kakiiko k’ebyokulonda.

Joseph Kabuleta

Nga ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Nsambya need Pulezidenti Joseph Kabuleta yagambye nti omubala guno kitundu kikulu nnyo mu kibiina kino era n’alabula nti FDC obutagenda mu maaso n’akozesa omubala gwabwe kiyinza okuvaamu ebizibu mu mateeka.

Ono asabye akakiiko k’ebyokulonda okuyingira mu nsonga mu bwangu.

Kabuleta abikudde ekyama nti alagidde bannamateeka bekibiia ki NEED  okubaako kye bakolawo mubwangu ddaala.

Mu kiseera kye kimu, Kabuleta yasambazze ebyogerwa gye buvuddeko nti yayimirizibwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina okumala ennaku 90, nga w’ebamunoonyerezako kumivuuyo gyatadde mu kibiina kino olw’okumenya ssemateeka w’ekibiina kino.

Abamu kubakulembeze bekibiina kino ng’abakulembeddwa omwogezi w’ekibiina Moses Matovu baalangiridde okuyimirizibwa kuno, nga bajuliza okukozesa obubi obuyinza, n’okulemererwa okuyita enkiiko z’abakulira emirimu mu kibiina ki NEED.

Kabuleeta yayongedde okulangirira nti agenda kuddamu okukola emirimu egy’omwogezi mu bujjuvu, nga kikwatagana ne Ssemateeka w’Ekibiina, atuuma pulezidenti erinnya ng’omwogezi omukulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *