Poliisi yeganye okuwamba akulira ebyokwerinda mu NUP

Bya mugula@namunyenews

Poliisi yeganye eby’okukwata kwa Achileo Kivumbi akulira ebyokwerinda mu kibiina kya National Unity Platform.

Omukulembeze w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine wiiki ewedde yalangiridde nga Kivumbi weyawambidwa ab’ebyokwerinda.”

Kivumbi Achileo

Yagambye nti abasajja bamuwambye nga batambulira mu mmotoka nnamba UAP 164P era ku wiikendi, kyategeezeddwa nti omuyiggo gwakoleddwa mu maka ge era ebintu ebiwerako omuli ebintu ebifanana e by’amagye byazuuliddwa.

Ku Mmande bwe yabuuziddwa ku nsonga eno, omwogezi wa Poliisi, Kituuma Rusoke yakkirizza nti so nga Kivumbi yakwatiddwa, ekikwekweto kyabadde kikoleddwa amagye.

Poliisi yeganye okukwata Kivumbi, wabula tukizudde nti kyali kikwekweto ekyakoleddwa ab’obuyinza mu magye. Ali mu mikono gy’amagye era nsaba mutuukirire amagye okumanya ebisingawo,” Rusoke bwe yagambye.

Kizuuliddwa nti Kivumbi yakwatiddwa abakozi okuva mu kitongole ekikessi n’ebyokwerinda ekya Defence Intelligence and Security, eyali, Chieftaincy of Military Intelligence.

Ku wiikendi, omukulembeze w’ekibiina kya NUP yeewozezzaako nti enyota z’amagye ezasangiddwa mu maka ga Kivumbi byasulibwa abantu abamukwata.

“Kino kye kimu gavumenti y’abamenyi b’amateeka kye yakola munnaffe Umar Magala amaze emyezi egiwerako mu kkomera ly’e Luzira Upper Prison. Baasimbye bbomu mu kisenge ky’abaana be ne bamuvunaana okulya mu nsi olukwe enkeera,” Kyagulanyi bwe yatadde ku mikutu gye egy’empuliziganya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *