Bya Mugula Dan
Poliisi eyigga abatemu okutta muganda wa Nyanjura mu kikwekweto kya mobile money
Obulumbaganyi buno bwaliwo nga November 22, era bwatwaliramu ne Bernard Sabiiti, 30, omuvuzi wa boda boda eyagezzaako okuyingira mu nsonga zino ng’attiddwa n’okunyagulula ssente ezitannaba kutegeerekeka.
Ku Lwokutaano, abantu bana okuli Jimmy Mutagubya 27, omuvuzi wa boda boda, Bosco Kayemba ow’emyak 47 omuzimbi, Marvin Makanga 27 ne Hamza Mutebi 30 baasimbiddwa mu kkooti ya City Hall Chief Magistrates Court ne baggulwako emisango gy’obutemu, okunyaga ebintu mu ngeri ey’obukambwe n’okwekobaana okukola omusango omunene era bazzeeyo e Luzira.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza bannamawulire ku CPS mu Kampala, nti bakyayigga abantu basatu abateeberezebwa okutta Hussein Kabuye, Joseph Bambaiha,aka fire ne Martin Lukenge okuggulwako emisango egy’engeri eno egyekuusa ku butemu n’obubbi obwaddirira.
“Mu kiseera kino abasatu bano bali mu kudduka kyokka tulaajanidde abantu okuvaayo n’amawulire gonna agayinza okuvaako okukwata abantu bano abakyali mu dduka,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yagambye nti omuntu yenna alina ku bikwata ku kifo abasatu bano we bali asobola okweyanjula ku poliisi ng’akozesa ennamba 0786 536296 ne 0741111333
“Ekirala, lipoota osobola okuzikola ku poliisi ekuli okumpi. Poliisi ya Uganda ekyali yeewaddeyo okulaba ng’abaakosebwa bafuna obwenkanya n’okukuuma obukuumi bw’abantu.”
Obulumbaganyi buno bwaliwo nga November, 22, abazigu abali batambulira ku boda boda nga bakutte emmundu ne bazinda edduuka lya mobile money e Ntinda eriddukanyizibwa muganda wa Nyanjura.
Abalumbaganyi baatunuulira nnyo ekiseera ono waggalirawo edduuka lye elya Mobile Money okudda eka ne bamukuba
Olw’ategera akabi akaliwo, Albert Cook Tugume yagezako okudduka n’ensawo omwali ssente ezitannaba kutegeerekeka, layini za ba agenti ba ssimu n’ebyuma bya ba agenti ba bbanka.
Kyokka bwe yali adduka, abalumbaganyi baamukuba amasasi ne bamutta nga tebannaba kutwala nsawo, layini za ba agenti n’ebyuma.
Omuvuzi wa boda boda eyagezzaako okuyingira mu nsonga eno yakubibwa amasasi n’afiira mu ddwaaliro e Mulago gy’abadde addusiddwa okujjanjabibwa olw’ebisago bye yafunye.