Poliisi etandise okuyigga abakuumi ba G4S abagambibwa okubba sente ezisoba mu kawumbi kalamba mu Kampala waliwo akwatiddwa n’obukadde 117

Bya namunye news

Poliisi mu Kampala n’emiriraano eri etandise okunoonyereza ku bubbi bw’ensimbi akawumbi ka silingi kamu n’Obukadde 69, obwakolebwa abagambibwa okubeera abakozi ba kampuni ya G4S

Obubbi bwaliwo nga 19 November,2024.

Kigambibwa nti abakuumi bano abaali batambuza ensimbi okuva e Lubowa okudda e Nakasero, beekobaana n’abantu abatannamanyika  nebanyaga ensimbi, oluvannyuma emmotoka ya kampuni ya G4S No. UAJ 199T nebagisuula ku luguudo Nabunya mu gombolola ye Rubaga,  n’Emmundu bbiri nebazireka omwo.

Omuntu omu nga ye Otim Ambrose Richard omu ku bagambibwa okubeera abakozi mu kampuni eno, akwatiddwa n’Obukadde bwa silingi 117, nga zeezimu ku nsimbi eziteeberezebwa okubeera enzibe.

Omukwate akukunuddwa mu disitrikiti ye Kwania.

Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’Emiriraano Luke Oweyisigire, agambye nti kaweefube w’Okuzuula ensimbi endala ezikyabuze akyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *