POLIISI ETANDISE OKUNOONYEREZA KU TTEMU ERYAKOLEDDWA KU MWANNYINA W’OMUMYUKA WA LOODIMMEEYA DOREEN NYANJURA

Bya namunye

Nga 22nd November 2024

Mwannyina w’omumyuka wa loodimmeeya Doreen Nyanjura, Albert Cook Tugume attiddwa abazigu mu kiro ekikeesezza olwaleero bwebalumbye edduuka lye erya ‘Mobile Money’ e Ntinda nebanyaga ensawo omubadde ssente, ng’ono yabadde agezaako okudduka nebamusindirira amasasi agamuggye mu budde. Okusinziira ku Nyanjura, waliwo omuvuzi wa booda booda ategeerekeseeko erya Barnabas eyagezezaako okutaasa omugenzi wabula naye abazigu  baamukubye ebyasi era yaddusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga biwalattaka.

Albert Cook Tugume

Okusinzira Luke owoyesigyire Amyuka akulira enkolagana n’abantu ku poliisi mu Kampala n’emiriraano agambye nti poliisi etandise okunoonyereza ku bubbi obw’entiisa obwabaddewo akawungeezi nga 21st November 2024 ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro mu Kiwatule Central Zone, Nakawa Division, Kampala City.

Kigambibwa nti omwami Tugume Albert 34, omukozi wa mobile money, yabadde yeetegekera okuggala edduuka lye n’alumbibwa omuzigu n’agenderera okumunyaga ssente ze. Mu kavuyo kano, omuvuzi wa boda boda.

Bambega ba poliisi baatuuse mangu mu kifo kino ne bazuula obujulizi obukulu obugenda okuyamba mu kunoonyereza okugenda mu maaso. Ekirala, mmotoka nnamba UBH 045H, yasangiddwa nga eyonoonese amasasi Owoyesigyire wategeezeza

Omulambo gwa Mwami Tugume gutwaliddwa mu ggwanika lya City Mortuary e Mulago okwekebejjebwa.

Tusaasira nnyo ab’enju n’emikwano gya Mwami Tugume Albert mu kiseera kino ekizibu. Poliisi ya Kampala n’emiriraano ekyali yeewaddeyo okuvunaana abaakoze omusango guno ogw’ekivve. Tusaba abantu bonna abalina amawulire gonna agayinza okuyamba mu kunoonyereza okuvaayo Luke w’agambye

Ebisingawo bijja kuweebwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *