Bya Mugula@namunye
Abaagalana bafunye essanyu olwa poliisi okuzula omwana waabwe agambibwa okuwambibwa omukozi w’awaka okuva mu Disitulikiti y’e Mayuge era ng’amaze wiiki bbiri zokka ne famire.

Omukozi w’awaka Nakija Prossy eyakwatidwa poliisi
Poliisi y’omu kitundu ky’e Kajansi ng’eri wamu n’ekitongole ekikessi ku bumenyi bw’amateeka baatandika omuyiggo ne bataasa bulungi Sserwada Lucas, omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu, eyategeezeddwa nti yawambibwa omukozi w’awaka Nakija Prossy, ow’emyaka 20, ku nga 10 July 2024 okuva mu maka ga muzadde we mu Ngobe Zooni mu Disitulikiti y’e Bunamwaya Wakiso.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano ASP. Luke Owoyesigyire, Nakija, abadde amaze wiiki bbiri ng’abeera ne famire, yavudde mu nnyumba n’omwana n’ensawo eyabadde epakiddwamu engoye n’ebintu ebirala ebimu ebikuumirwa mu nnyumba ku lunaku olwabaddewo.

Abazadde bw’omwana nga bakwasibwa omwana wabwe ku CPS mu Kampala
Olwategedde nti omwana abuze, kitaawe, Nimrod Mugagga yaloopa okubula k’omwana ku Poliisi e Ngobe Police Post eyatandika amangu ddala okunoonyereza ekyaviiriddeko omwana ono okuzuulibwa.
“Oluvannyuma lw’okuwandiisa omusango gwa gw’okuwamba, omuserikale waffe mu Poliisi y’e Kajansi ng’ali wamu n’ekitongole ekikessi ku bumenyi bw’amateeka (DCI), baatandika okunoonyereza okulondoola Nakija’’, Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti, mu kunoonyereza, ttiimu eno yakutte Kayanga Allan ow’emyaka 20, e Luzira, abadde amanyiddwa nga muganzi wa Nakija. Okwongera okunoonyereza kwatuusizza ttiimu eno okutuuka mu kifo we yatuukira e Mayuge, Nakija gye yakwatiddwa n’omwana, eyasangiddwa nga mulamu era ng’ali mu mbeera nnungi, bwe yabadde agezaako okusomoka okugenda ku kizinga ekiddako.
okusinziira ku Owoyesigyire, ekigendererwa ky’okuwamba abantu bano n’okutuusa kati tekinnategeerekeka. Yagambye nti kaweefube agenda mu maaso n’okukunya abantu bano okumanya ebisingawo.
“Tusiima ttiimu ya bambega eyeewaddeyo okuva mu kitongole ekikessi ku bumenyi bw’amateeka (DCI) olw’okukola amangu, ekyaviirako omwana ono okununulwa obulungi. Mu kiseera kino abakwate bakuumirwa ku Poliisi y’e Kajansi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.’’ Bwe yagambye.
Owoyesigyire era asuubizza bannamawulire nti ebisingawo bigenda kuweebwa amangu ddala nga poliisi emaze okukola n’okunoonyereza.