Poliisi esabye bannauganda okwegendereza oluvannyuma lw’okulabula kwa Amerika ku butujju

Bya mugula@namunye news

Poliisi esabye abantu obutasattira wabula babeere bulindaala oluvannyuma lw’okulabula kw’obutujju okwafulumiziddwa ekitebe kya Amerika.

Kituuma Rusoke

Mu kulabulura okwafulumiziddwa ku wiikendi, ekitebe kya Amerika kyalabudde bannansi baayo okugezaako okwewala ebifo omujjudde abantu oluvannyuma lw’okufuna amawulire agakwata ku bulumbaganyi bw’abatujju obutegekeddwa.

Bwabadde ayogera ku kulabula kuno, omwogezi wa poliisi, Kituuma Rusoke akakasizza nti okulabula kuno kwa ddala, n’ategeeza nti ebyokwerinda bitaddewo enkola ez’okwewala okutiisibwatiisibwa kuno.

“Uganda eri ku mwanjo okulwanyisa obutujju era olw’ekyo, abatujju baagala nnyo okutwesasuza era olw’ensonga eno, okutiisatiisa tekuggwaawo. Kituufu waliwo okutiisibwatiisibwa kw’obutujju,” Rusoke bwe yagambye.

“Tetubikka mifaliso wabula tuli balamu eri okutiisibwatiisibwa.”

Wabula poliisi egamba nti abantu be bakulu mu kwewala okutiisatiisa kuno ng’olunyiriri olusooka olw’okwekuuma nga banywerera ku by’okwerinda ebiteekeddwawo.

“Twesigama ku bantu mu kutwala obubaka nga bukulu.  Tusaba abantu bonna nti singa wabaawo okulabula ng’okwo, balina okubeera obulindaala. Bw’oba ​​olina ekizimbe ekinene oba ekizimbe kya lukale, kebera buli muntu akiyingira. Abantu tebalina kusattira wabula bakole ebintu gavumenti by’ebadde ebasaba okukola. Bwe kiba kivvulu, wandibaddewo enkola z’okufuga abantu. Bw’olaba ekintu kyonna ekiteeberezebwa, mutegeeze ebitongole by’ebyokwerinda,” Rusoke bwe yagambye.

Mu November wa 2021, abatujju baakuba Uganda ku Poliisi ya CPS mu Kampala ne ku luguudo lwa Parliamentary Avenue mu bulumbaganyi obwaleka abantu 10 ne bafa n’abawera ne balumizibwa.

Okuva olwo obulumbaganyi buno bubadde buvunaanibwa ekibinja ky’abatujju ekya ADF ekikolera mu buvanjuba bwa congo.

Oluvanyuma lw’obulumbaganyi buno, ab’ebyokwerinda mu Uganda baakola ebikwekweto ne batema obuyumba bwa ADF munda mu ggwanga nga abamu ku bammemba b’ekibiina kino ne ba agenti baakwatiddwa oba okuttibwa mu bikolwa.

N’ekyavaamu, amagye ga UPDF nga gali wamu n’amagye ga congo gaayiiriddwa mu buvanjuba bwa Congo mu kikwekweto ekyatuumiddwa Shuja ekyagenderera enkambi za ADF.

Okuva olwo abamu ku bammemba b’ekibiina kino battiddwa oba bakwatibwa nga balamu ate ng’abawambi bangi basumuluddwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *