Bya Mugula Dan
Akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti akalwanyisa obulyake n’obukenuzi ka AntiGraft SH nga kayambibwako Poliisi kakutte abakulira okugaba emirimu gya gavumenti babiri mu disitulikiti ye Kamuli okuli Mukiibi Nasser ne Kifuuse Alex nekabasimba mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Wandegeya mu maaso g’Omulamuzi Asiimwe Esther okusomebwa emisango egyenjawulo.

Bano Omulamuzi abasomedde emisango okuli; ogw’okukozesa obubi woofiisi, okubulankanya ensimbi za gavumenti ezaali ez’okuzimba oluguudo lwa Nawanyago Kisozi e Kamuli.

Kigambibwa nti bano emisango gino baagizza wakati wa June ne July wa 2025 nga mu ngeri eno bezza ensimbi zaakuno obukadde obusoba mu 403.