AMAWULIRE
Bya mugula@namunyenews
Poliisi etegeezezza nga bwegenda okufulumya enkumi n’enkumi za boda boda ezitannaba kwewozaako ezaakwatiddwa mu bikwekweto eby’enjawulo okwetoloola eggwanga.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Michael Kananura yategeezezza bannamawulire ku Mmande nti boda boda ne pikipiki zonna ezikwatiddwa olw’emisango emitonotono zigenda kuyimbulwa , kasita bannannyini zo bagenda okuziwozaako.

Bodaboda ezakwatibwa mubikwekweto ezili e wandegeya ku poliisi
Tulina pikipiki eziwerako ezisimbye ku poliisi ez’enjawulo okwetoloola eggwanga naddala mu Kampala Metropolitan Area nga tezinnaba kwewozaako. Tulaajanidde abantu abalina pikipiki ezisimbye ku poliisi okuzisaba. Jjangu n’ebiwandiiko ebikwata ku pikipiki osobole okugitwala,” Kananura bwe yagambye.“Pikipiki zino ezisinga ezisimbye ku poliisi zaffe tezirina kunoonyereza kwonna okulindiridde oba okubuuliriza okugenda mu maaso era n’abo pikipiki abaabuze bayinza okuba nga be bamu ku bano esimbiddwa ku poliisi. Bannannyini zo bajje ku lwazo.”
Poliisi mu myaka egiyise ekoze ebikwekweto ng’ebisinga etunuulidde boda boda.

Omwogezi wa poliisi yebidduka Michael Kananura
Ebikwekweto bino bitunuulidde abo abavuga nga tebalina pamiti , obukooti obulaga ebifaananyi n’enkoofiira ng’emu ku ngeri y’okukwasisa empisa n’okukendeeza ku bubenje ku nguudo za Uganda.
Bwabadde ayogerera ku Mmande, omwogezi wa poliisi y’ebidduka agambye nti pikipiki nnyingi ezisibye mu kiseera kino ku poliisi ze zino ezirina emisango emitonotono ng’obutaba na pamiti, enkoofiira n’obukooti obutunula.
Wabula Kananura yagambye nti okusobola okuziddiza, bannannyini zo ku kwongera okukakasa obwannannyini, balina okusasula tikiti za penalty ez’amangu nga tebannazitwala.
Yagasseeko nti pikipiki ezeenyigira mu misango ng’obubbi, obutemu n’obubenje tezigenda kuyimbulwa kubanga zino zirindiridde okunoonyereza oba emisango gyazo gikyali mu kkooti.