Mulonde abakulembeze abanabayamba -Kananura
BYA MUSASI WAFFE
Eyegwanyizza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kira Municipality Daniel Kananura asabye abatuuze b’e Kira Municipality, okulonda abakulembeze abasobola okubaddukira nga bafunye ebizibu .

Kananura ng’agumya ab’ekiganda-Kasokoso
Kananura agidde mu kisinde kya Patriotic League of Uganda ( PLU ) ekikulemberwa omuduumizi wa magye Gen Muhoozi Kainerugaba , ono ategezezza nti omukulembeze omutuufu yoyo abererawo abantu abaamulonda nabaddukirira mu bizibu eby’enjawulo nebafuna esuubi mu bulamu
Bino Kananura abyogeredde Kasokoso mu kitundu ekimanyiddwa nga Thailand bwa badde asisinkanye abatuuze ku mukolo gw’okugulawo oluzzi olw’omuddumu lweyazimbidde abatuuze ku byalo ebisoba mu 5 okubawonya okugabana amazzi n’ebisolo
Mu lutalo lw’okulwanira kkaadi ya NRM olwokaano alilumu ne Isaac Ssenkubuge ssentebe wa Bweyogerere Division, Edison Tumwebaza ,Allan Bulamu ssentebe w’ekyalo Nalya Estate naye ebiriwo biraga nti Kananura bano agenda ku bakuba mu kamyufu .

Ku mukolo guno abatuuze balopedde Kananura nga webasula ku bunkenke olw’ebigambibwa nti gavumenti egenda kubagoba ku ttaka webasula , kyokka abakulembeze b’ebalonda okubalwanirira babasulawo dda ,abalala bakolagana nabo ababagoba ku ttaka ,kyokka Kananura yategezezza abantuuze nti singa bannamulonda agya kubalwanirira kubanga gavumenti ebagoba gyalimu .
Mu kitundu kananura mweyabadde, omubaka Ssemujju mwasinga amanyi kyokka mu kitundu kye kimu Kananura mwasinze okusimba amakanda ekisatizza enkambi ya Ssemujju nga bagamba nti Kananura amanyi gataddemu gayitiridde obungi ekigenda okumuletera obuwanguzi.
Ensonda zoongedde okututegeeza nti mu bonna abegwanyizza ekifo ky’omubaka kya Kira ,Kananura yakyasinze okubeera mu bantu nga asagula akalulu atimbye ebipande mu buli nsonda ya Kira Municipality okulaga abantu nti waali nnyo bamulabira nda ddala