BYA MUSASI WAFFE
Munna kisinde kya PLU , Daniel Kananura eyegwanyizza ekifo ky’omubaka wa Kira Municipality asabye gavumenti okusooka okusomesa abantu nga tenabawa ssente ez’okwekulakulanya

Kananura ategezezza nti mu kanonyereza kwaliko mu byalo 52 ebikola Kira byatuuseemu, akizudde nti obwavu obuli bantu mu byalo bono bwagala ku batta , olw’ensonga nti tebamanyi ku kozesa ssente gavumenti zebawa nga eyita mu pulojekti ez’ejawulo emyooga ,parish development Model n’etekateeka endala , kubanga ssente weziri naye tebamanyi ngeri yakuzikozesaamu eky’ongedde okusibira abantu mu bwavu olw’obutamanya.
Asabye wabeewo okusomesebwa okwamanyi okuva mu gavumenti eri banna nsi nga entekateeka gavumenti zitekawo okugya abantu mu bwanvu nga tezinatandika kisobozese abantu okuziganyulwamu obulungi bino Kananura abyogedde asisinkanye abakyala abakola emirimu emitonotono omuli abafumba emmere, abokya kasooli nabalala mu Kira mu kawefube gwaliko ow’okumatizza abatuuze mu Kira bamulonde ku kifo ky’omubaka wa Kira Municipality mu kalulu ka 2026
Kananura ategezezza nti akalulu akanonya nju ku nju kubanga kimuyamba okutuuka ku buli muntu namutusaako obubaka bwayagala okumugamba nga enkola eno yeyokka egya okumutunda mu bantu bamutegeere naye ategeere ebizibu ebiruma abantu nga wanatuuka mu palamenti kigya ku mwaguyira okubiitusa ku fulo ya palamenti

Daniel Kananura ng’ayogera n’abakyala b’ekirinya
Ekifo kino kirimu Ibrahim Ssemujju Nganda nga singa akomawo agya kuba ayagala kisanja kya ku satu nga omubaka wa Kira Municipality ate agya kuwezza emyaka abiri nga ali mu palamenti kubanga ekisanja kye ekyasooka mu 2011 yali mubaka wa Kyadondo East eyayawulwamu Kira nesigala yokka
Abalala abegwanyizza ekifo kuliko munna mateeka wa NUP George Musisi ,Jimmy Lukwago amanyiddwa nga Kira Young nga bano batunka ku kaadi ya NUP, Isaac Ssenkubuge ssentebe wa Bweyogerere Division ayagala kugira ku kaadi ya NRM, Frank Katabalwa mu kalulu akawedde yavuganya nga talina kibiina, Eiru Andrew yaliko kkansala wa Bweyogerere ku municipality, Allan Bulamu ssentebe wa Lc1 Naalya Estate, Edison Tumwebaze ,Peter Kazibwe nabalala bangi bakyesowola.