OMWANA ASANGIDDWA NG YEETUGIDDE MU BBAALAKISI YA POLIISI

Bya mugula@namunye news

Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku mbeera mwe yasangidde omwana ow’emyaka omwenda ng’yeetugidde mu nju eri mu bbaalakisi ya Poliisi e Nsambya.

Okusinzira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, Aeron Omagor omutuuze mu Nsambya Poliisi bbaalakisi e Makindye divizoni mu disitikiti ye Kampala gwebasanze nga afiriide munda mu nnyumba oluvannyuma lw’okukozesa omuguwa gw’engatto.

“Alipoota ezisookerwako ziraga nti ku makya ga October 6, 2024, Omagor yali waka ne mwannyina Asiu Melvin oluvannyuma lw’okugenda mu kusaba. Kigambibwa nti Omagor bwe yali azannya, yayingidde mu maka gaabwe oluvannyuma n’agoba mwannyina n’omwana omulala. Oluvannyuma mwannyina yakizudde nga yeewanika ng’akozesa akaguwa k’engatto munda mu nnyumba,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yategedde nti omukozi w’awaka oluvannyuma yategeeza Poliisi y’e Kabalagala n’eyanguwa okutuuka mu kifo kino ne yeekenneenya omulambo.

“Tewali buvune bwonna bwasangiddwa ku mulambo era okubuuliriza kukyagenda mu maaso. Kati omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lya Mulago.”

Okuva ekirwadde kya ssenyiga omukabwe lwe kyaggwaawo, ensonga z’obwongo n’emisango egyekuusa ku nsonga eno ng’okwetta kweyongedde mu ggwanga lyonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *