Bya muguladan@namunyenews
Poliisi e Mubende eri mu kuyigga omusajja agambibwa okutta omusajja munne oluvannyuma lw’okumusanga nga yeegatta ne mukyala we mu maka gaabwe ag’obufumbo.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Wamala, SP Racheal Kawala, bino byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, Ignitious Nyansiyo, aka Muhwezi, omutuuze w’e Ngowa Lc1 Katente Parish mu ggombolora Kiyuni Mubende disitulikiti bwe yasangiddwa ng’alina omukwano ne mukyala wa… Mutatina Khalisiti

Racheal Kawala
“Omutemu, Khalisiti mutemu w’embaawo ali wala ng’akolera mu disitulikiti y’e Kagadi gy’asinga obudde kyokka n’aleka mukyala we ku Ngowa Lc1. Kigambibwa nti Nyansiyo (omugenzi) abadde alina omukwano ogw’enjawulo ne mukyala w’omutemu. Mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga , ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo ,omutemu yakomyewo awaka n’asanga Nyansiyo ng’ali ku kitanda ne mukyala we era kigambibwa nti yamufumita n’amutta ng’akozesa ekiso,” Kawala bwe yategeezezza.
Okusinziira ku poliisi, oluvannyuma lw’okufumita Nyansiyo ekiso , omutemu n’omukyala badduse era poliisi we yategeezeddwa okujja mu kifo kino, eyali asangiddwa ng’afiiridde mu kitanda kya Khalisiti.
“Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaaliro ekulu emubende okwekebejjebwa . Kaweefube ali mu maaso okulaba ng’omutemu akwatiddwa n’atwalibwa mu kkooti,” Kawala bwe yagambye.