OMUYIMBI amanyiddwa nga Bob Way Omunyakuza obudde bumuddugaaliridde bw’afulumizza oluyimba olutadde obunkenke mu bantu. Mukalazzi Isima, ng’amanya ge agakola ssente era gaakozesa mu kuyimba ye Bob Way Omunyakuza, agamba nti, tafunanga buweerero okuva bwe yafulumya oluyimba lwe bayita “Towemula” nga luno lukolokota nnyo Abalokole, Bapaasita abafere n’abalimba endiga zaabwe n’ebikolwa byabwe eby’ekko.
OMUKAZI ANNEESIBYEKO: Omuyimbi ono agamba nti waliwo omukyala Jane Mutesi ayagala okwonoona erinnya lye era ng’alina ekigendererwa ekyokumusibako amatu g’embizzi amuliise engo nti ye yamuwola ssente zonna ezaakola oluyimba luno ng’ategeeraganye okuzimuddiza ng’oluyimba lufulumye, kyokka oluyimba bwe lwafulumye n’agenda okumubanja yatimpudde mutimpule.
Bya Musasi Waffe e Kampala