Omusosodooti akwatiddwa ku by’okutta omukozi wa URA

Bya mugula@namunyenews

Poliisi e Entebbe ekutte Dominic Alinga omusosodooti e Nakapiripirit ku by’okutta John Bosco Ngoro omukozi mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority.

Okusinziira ku Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi, ku Lwomukaaga baafunye alipoota y’obutemu obuteeberezebwa okuba ku luguudo oluva e Kitooro okutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe.

Ngorok John Bosco eyafumitiddwa ekiso

Omugenzi ye Ngorok John Bosco, omusajja ow’emyaka 30, omukozi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku musolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority. Ono abadde afumitiddwa ekiso mu bulago n’omutwe,” Rusoke bwe yagambye.

Dominic Alinga omusosodooti

Yategedde nti Ngorok poliisi yamuddusizza mu ddwaaliro lya Grade B kyokka oluvannyuma lw’eddakiika 20 n’alangirirwa nti afudde.

Omuyiggo gw’abateeberezebwa okuba emabega w’ettemu lino gwatandise, ekyaviiriddeko okukwata Alinga, omusosodooti mu kkanisa y’ekigo ky’Abakatoliki e Nakapiripirit.

Yategeezezza nti okunoonyereza kulaga nti Faaza ono omulabirizi yamuyimiriza mu kkanisa ku bigambibwa nti yabba ebirabo ebalirirwamu obukadde bwa silingi 6.

Poliisi egamba nti okunoonyereza ku butemu buno bwekugenda mu maaso era nga mu bbanga ttono omutemu agenda kusimbibwa mu kkooti z’amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *