OMULAMUZI KAWOOYA SAMUEL KIGONGO EYAWUMMULA ALANGIRIDDE OKWESIMBAWO KU BWA PULEZIDENTI MU KALULU AKAJJA KA 2026.

Bya mugula dan@namunye news

Ebugumu mukuvuganya ku bwa pulezidenti lyeyogedde nga beetegekera okulonda kwa bonna okwa 2026, munnamateeka era omulamuzi Kawooya Samuel Kigongo eyawummula alangiridde mu butongole bw’agenda okwesimbawo. Mu kwogerako Namunye news Kigongo yakkaatirizza obweyamo bwe obw’okutumbula demokulasiya n’okukuma emirembe mu Uganda enkyukakyuka ez’amakulu, n’avumirira obuwanvu bwa pulezidenti aliwo kati Yoweri Kaguta Museveni, abadde akulembedde eggwanga okumala emyaka mingi.

Munna NRM Kawooya Kigongo Samuel

Ng’ebula omwaka gumu gwokka okulonda kubeerewo, abantu ssekinnoomu abawerako batadise okulangirira okwesimbawo ku bwa pulezidenti, kyokka Kigongo yeeyolekedde ng’omuntu yekka asomooza Museveni okuva munda mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM), Museveni gy’aweereza nga ssentebe.

Kigongo yalaze obwesige mu kusalawo kwe okwetaba mu lwokaano, n’akakasa nti enkola ye egenda kwawukana nnyo ku beesimbyewo abazze battunka ne Museveni mu kulonda okuyise naddala mu 2015. Akyali mwetegefu okwaŋŋanga ebizibu ebiyinza okubaawo mu kampeyini ze.

Mu kwanukula ebigambo ebyayogerwa omuduumizi w’amagye Gen. Muhoozi Kainerugaba gyebuvuddeko ku bikwata ku bukulembeze bwa bannansi abatali ba magye, Kigongo yasambajja ebigambo bino ng’agamba nti ssemateeka tawagira ndowooza ng’ezo.

Kigongo kati alinze kulonda kwa NRM n’okukkiriza bannakibiina banne okuzuula oba banamuwa omukisa okwatila ekibiina ye bendera ku bwapulezidenti mu kulonda kwa 2026 okubindabinda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *