Omukozi w’edduuka dya Hardware bamukubye amasasi abazigu b’emmundu e Jinja

Bya namunye

Okubuna emiwabo bibadde mu kibuga kye Buwenge mu district ye Jinja, abazigu ab’emmundu bwebayingidde mu dduuka lya Hardware erya Isabirye God nebakuba ababaddemu amasasi, gasse Bumaali Ben negalumya nabalala babiri.

Bino bibaddewo ku saawa nga bbiri ezekiro kya nga 04 April,2025 abakola mu dduka bwebabadde banaatera okuggalawo.

Abeeabiddeko nagaabwe bagamba nti abazigu babadde batambulira mu mmotoka yobuyonjo etabaddeko namba plate, era olumaze ogwaabwe nebabulawo.

Banenyezza police ye Buwenge olwokubeera ennafu, nebagamba nti singa etuukiddewo mu bwangu  yandikutte abazigu bano abongedde okutigomya Jinja.

Sentebe wa Disitrikiti eno Moses Batwaala yoomu kwabo abaatukiddewo, era navumilira ebikolwa by’obutemu ebyeyongedde mu Jinja.

Police omulambo egututte mu ggwanika lye Ddwaliro e Jinja nga bwegenda mumaaso nokuyigga abatemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *