OMUJAASI AWEEREDDWA EKIBONEREZO KYA KUSIBWA EMYAKA 35

Bya Mugula Dan

Eyali omujaasi w’Eggye lya UPDF oluvannyuma naddukamu, Daniel Kisekka aweereddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35 oluvannyuma lw’okukkiriza nti yeyatta eyali amyuka Ssaabawaabi wa gavumenti, Joan Kagezi mu mwaka gwa 2015. 

Okusinziira ku kkooti, Kisekka yabba emmundu 2 kika kya AK47 bweyali adduka mu magye zeyakozesaanga okubba okutuusa lweyafuna ddiiru okuva ew’omunene omu eyamusuubiza okumuwa emitwalo gya ddoola 2 singa atta Kagezi nga kuzino yamuwaako emitwalo gya Uganda 50 zokka nga bwalinda endala. 

Kisekka yetondedde famire y’omugenzi, gavumenti ne Pulezidenti ng’ono amaze ku alimanda omwaka gumu n’emyezi 6 n’ennaku 13 nga lino ebbanga lyakutoolwa ku kibonerezo ekimuweereddwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *