OKUSITULA AMATEKA MU BIZINENSI NGA ZIFUNYE EBIZIBU

By Mugula @namunyenews

Ekitongole ekivunaanyizibwa mukuwandiisa amakampuni ekya “Uganda Registerion services Bureau” (URSB )olwa leero kyategese olukungaana lwa Balamuzi okubaganya ebilowoozo ku mateka agafunga amakampuni agali mu bizibu nga lubadde ku Mestil hotel mu kampala n’omulamwa

 Innovative Insolvency Practices for Business Sustainability, nga lwa musaavu .

George Fred Kagimu nga membar ku’lukiiko olufuzzi “URSB” agambye nti luno olukuggaana balutegese nekigenderelwa ekyokutema empenda batya bwebayinza okumalawo ebizibu ebingi amakampuni byebasanga nga balemeleddwa okusasula abakozi babwe saako nabantu abaguza amakampuni ebikozesebwa nebalemwa okusasulwa nga bagenda kutunulira kusonga za mateka singa g’aba gakyusidwamu nokulogosebwamu.

Ono ategeezeza nti ebilowozo bino ebikwata ku mateka agafunga amakampuni singa abalamuzi w’ebanagata emitwe bulyomu naleta amagezi kusonga z’amateka kigya kuyamba kkooti okusala emisango mubwangu  egikwata ku bizinensi . 

Agamba nti, singa amateka ag’akwata ku bizinensi gakyusidwamu galina okuyamba abantu bonna abalina am’akampuni saako nabo abagenda okutandiika obutadiisi bizinensi g’asobore okubakuma nga tebafuye bizibu mu bizinensi z’abwe.

Era agambye nti, bagenda kutunulira amateeka agali mumawanga amalara nga Kenya, Rwanda Tanzania, South Dan, nagawano nga gali mulayini ya bizinesi okugakubagayako ebilowoozo oba gakwatagana nagawano agafunga bizinesi kubanga waliwo amakampuni agava ebweru negalemwa okusasula abakozi, URSB kyeva evuddeyo okutekawo omusomo gunno eri abalamuzi okwefumitiliza ku’mateeka agafunga bizinensi

Ate akulila ekitongole kya “URSB” Mercy K Kainobwish agambye nti bategeese omusomo gunno okufuna ebilowozo okuva mubalamuzi ebikwata ku mateka agafunga amakampuni ne bizinesi ku besaze nga bantu bangi tebamanyi kyebayiza kola singa bafunye obuzibu mu bizinensi n’ makapuni agalemwa okusasula abakozi nga bagala okuyambako abantu abali mu bizinesi okufuna obwekanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *