Bya namunyenews
Oluvannyuma lwa Minisita avunayizibwa kunsonga za’baana n’abavubuka Balaam Barugahare Ateenyi okusaba omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti Owek. Joel Besekezi Ssenyonyi okumuwa olukalala, lwa bawagizi b’ekibiina kya NUP bebasiiba mumakomera , olwaleero olukalala baluwadeyo okuli amannya gaba NUP abakyali mu kkomera kati emyaka esatu .
Omumyuka wa sipiika wa palament Thomas Tayebwa agamba nti palamenti ebadde etabuka ku nsonga eno ey’abawagizi ba NUP abali mumakomera era bwe wabaawo engeri yonna gye bayinza okufuna n’eddembe basaanya okuyambibwa
Mu ngeri y’emu alagidde omuwandiisi mu palamenti afunemu kkopi y’olukalala luno bagiwe minisita Balaam olw’obuyambi bweyasuubizza eggulo amangu ddala nga amaze okulayira nga omukungu mu Palamenti.
Mugeri y’emu ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP lewis Rubongoya olukalala luno yalutadde ku kibanja kye X.
Bannayuganda bano 18 baasibibwa mu biseera eby’enjawulo okuva mu bifo eby’enjawulo ab’ebyokwerinda mu gavumenti.n’okutuusa kati, bakyali mumakomera.