Bya Mugula Dan
Akwatidde ekibiina ki DP bendera ku kifo ky’omubaka wa Mukono North, Nsubuga Kenneth Ssebagayunga ali mu kattu oluvannyuma lwa Poliisi okugwa ku kabinja k’abawagizi be nga basiba sukaali mu buveera nga bwebateekamu ebipande bye n’ekigendererwa okubigabira abalonzi Poliisi kyeyise okugulirira abalonzi ekintu ekimenya amateeka g’ebyokulonda.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, KawalaRachael ategeezezza nti abakwatiddwa bakuumibwa mu kadduukulu ka Poliisi nga bwebalindirira okutwalibwa mu maaso g’omulamuzi babitebye.
