Nsiima eyakuba omukozi we ssundiro lyamafuta ga Shell biwanvuye

Bya Mugula Dan

15/10/2025

Eby’omuserikale wa Poliisi, Clive Nsiima ayalabikira mu katambi ng’akuba omukozi wa ‘Super Market’ ku ssundiro ly’amafuta ga Shell e Kyanja biwanvuye ng’ono eyolekedde okugobwa mu Poliisi.

Okusinziira ku bubaka obuteereddwa ku mikutu gya Poliisi emigattabantu, Nsiima yagasimbaganye n’akakiiko akakwasisa empisa mu Poliisi okwenyonnyolako ku ffujjo lyeyakola okukkakkana nga kamusingisizza omusango era nekawabula nti asaana kuwummuzibwa ku mulimu. Ono mu kakiiko kano yagendayo Ssabbiiti ewedde .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *