Gavumenti eyongezzaayo okuzza obuggya endagamuntu z’eggwanga okuva mu kitongole kya NIRA
Rosemary Kisembo, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu n’okuwandiisa endagamuntu mu ggwanga yalangiridde ku Lwokusatu nga June 5, 2024 nti okuwandiisa abantu abangi n’okuzza obuggya endagamuntu bwe yayongezeddwayo.
Okuwandiisa endagamuntu mukikungo kwali kutegekeddwa nga june 1, 2024, kwayogezedwanyo okutuuka mu August omwaka guno.
Kisembo okwongezaayo okw’ewandiisa mukikungo OKUFUNA ndangamuntu kino yakitadde ku “kulwawo kw’okugula ebintu ebigenda okweyabisibwa mumulimu guno ogokufuna endagamuntu empya .”
Kisembo alaga nti ku nkomerero ya July 2024, okuwandiisa endagamuntu ku genda kutandika.
“Okumanyi ku nteekateeka y’ebyokulonda, n’okuggwaako kwa kaadi ezimu okutandika ne August 2024, Gavumenti ekola byonna ebyetaagisa okulaba ng’okulwawo tekukosa kugaba mpeereza na nteekateeka,” ekiwandiiko kya Kisembo bwe kisoma mu kitundu.
Yalaze nti mu kwebuuza ku Ssaabawolereza wa Gavumenti, enkola ziteekebwawo okulaba ng’abantu tebafuna buzibu bwonna olw’okulwawo.
“N’olwekyo, Minisitule y’ensonga z’omunda n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuzuula n’okuwandiisa abantu mu ggwanga kyagala okukakasa abantu nti gavumenti ejja kutuusa omulimu guno obulungi mu biseera ebiragiddwa,” bw’agamba.
Ekintu ekifaananako bwe kityo kyaliwo mu 2021. Kyokka dduyiro ono yakolebwa bulungi mu bbanga lya myezi ena.