Bya namunyenews
EBIFAANANYI bya Kabaka ng’ali e Namibia ne muganda we Omulangira Joseph Ndawula n’okutuusa kati, bisaasaana nga muddo gwa luyiira ku mikutu gya sosolo mediya. Kyokka bwe weetegereza embeera Kabaka, tolemwa kuyungula zziga.
Musajja wattu yabadde yeenaanise binniigiina n’akagirikooti nga kalinga kano aba Boda bwe batera okwambala, kyokka ebyo bwe byabeereddewo, nga Maama Naabagereka ali mu kutiguka mu wooteeri ez’ebbeeyi atongoza nsawo yakuyamba baana abatabufu b’emitwe, omukolo ogwabaddeko ne muka Gen. Muhoozi Kainerugaba, Charlotte Nankunda Kutesa.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’amawulire, Joseph Tamale Mirundi, alumiriza nti gye bujja Kabaka n’amala atuukako obuzibu, Naabagereka y’omu ku balina okwokyekwa kajjogijjogi w’ebibuuzo. Okuva Kabaka lwe yatandika okulwala, Katikkiro Mayiga kye yayita alaje w’ebimuli n’empumbu, abamu kye baataputa nti “Mayiga alimba alimba…’
Akakuku ka Naabagereka n’abakungu be Mmengo, kaasinga kweyoleka bwe yali atongoza ekitabo ekikwata ku bulamu bwe mwe yateeka abalongo baagamba nti babe, wabula abe Mmengo ne bafulumya ekiwandiiko ekikambwe nti tebabamanyi. Ku mukolo, tekwaliko wadde Omukungu n’omu ava Mmengo, n’aba CBS FM, tebaasindikayo bannamawulire baabwe!
KABAKA AYAMBALA KISAAZI; Edda,
Kabaka yayambalanga n’atonnya mmooli, kyokka ensangi zino, ebibuuzo bingi ansa ntono, abasinga we beebuuliza, nti naye ddala Maama Naabagereka akola mulimu ki mu Lubiri? Bw’abadde alambula emyalo egyenjawulo okuli ne Mulungo, ng’ayambala bijjiini ebitategeerekeka, ate bwe yabadde e Namibia, kyasusse kubanga binniigiina nga bino bye batunda mu Owino bireetawo okwewuunaganya!