Bya namunyenews
Omumyuka wa ssaabawandiisi w’ekibiina kya “National Resistance Movement, Rose Namayanja asimatuse akabenje akalala mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Ebikwata ku kabenje kano bikyali bitono nnyo Rogers Mulindwa, omwogezi w’ekibiina kino bwe yafulumizza ekiwandiiko ekimpi wansi:
Okusinzira Rogers Mulindwa agambye nti, mumyuka wa Ssaabawandiisi wa NRM Owek. Rose Namayanja Nsereko agudde ku kabenje akawungeezi ka leero e Wakiso. Wabula akakasizza nti bonna abatambulira mu mmotoka eno basimattuse nga tebafunye buvune. Ebisingawo bigenda kugoberera.