Bya mugula Dan
Akakiiko mu kibiina kya NRM akeby’okulond akatandise okuwandiisa ban’akibiina abegwanyiza okuvuganya mu kamyufu ka NRM ku mutendera ogw’ababaka ba palamenti neba Ssentebe ba Disitulikiti.

Abanene mu kibiina bebasookedde ddala okuggyayo empapula, okuli Sipiika wa Parliament Nnalongo Annet Anita Among ayagala okweddiza eky’omubaka omukyala owa Bukedea Disitulikiti.
Omumyuka wa pulezidenti Jesca Alupo ayagala okuvuganya ku ky’omubaka omukyala Owa Disitulikiti ye Katakwi, ate nga n`omumyuka wa wa Sipiika Thomas Tayebwa naye aggyeyo empapula okuddamu okuvuganya ku ky`omubaka wa Ruhinda North County mu district y’e Mitooma.

Omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa ategezeeza nti basazeewo okuddamu okuvuganya batereeze ebizibu government yabwe byebadde tenakolako.
Chancellor wa Makerere University Dr.Crispus Kiyonga naye yewandiisizza okuvuganya ku ky’obubaka bwa Parliament okukiikirira Bukonzo West mu district ye Kasese.

Lawrence Alionzi wakati abadde muna NUP
Dr. Wakida Patrick Godfrey Ssenkulu wa CEO Research World International, naye agyeyo empapula okugenda mu Constituency ye Kabweri mu district ye Kibuku.
Bajungu Godfrey abadde Ssentebbe w’eggombolola ye Kibanda okumala emyaka 25, naye aggyeyo empapula okuvuganya ku kifo kya Ssentebbe wa district ye Rakai.
Ku lunaku olusookedde ddala, ba memba 781 bebaggyeyo empapula okuvuganya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo
Ate eyali Guild pulezidenti wa Makerere University , Lawrence Alionzi amanyiddwa ennyo nga Dangote, asaze okuva mu NUP nada mu NRM era naye aggyeyo empapula z’okusunsulamu, ng’alaga nti ayagala kuvuganya ku bwameeya bwa Arua City. Alionzi agamba nti ayagala kubeera mugenyi so si mulabi, mu kukola ebiseera by’omu maaso eby’ekibuga kye.