By Mugula@namubyenewa
Alumbye bu Foot Soldier okumuvuma…
MATHIAS Mpuuga, ayongedde okuweereza Bobi Wine omuliro bwategeezezza nti ye talina gy’alaga era tagenda kuva ku bwa kamisona ng’ekibiina kye ekya NUP bwe kyamusaba. Ono agamba talaba nsonga lwaki alekulira ate nga ssente ze bagamba obukadde 500 nti yalya teyali nguzi, era nti ekyo omuntu alina amagezi amazaale n’amanyi amateeka ekyo akiraba nti NUP terina buyinza kumuggya mu kifo ekyo.
Ono agambye nti y’omu ku baatandikawo NUP ne mikwano gye tasobola kukivaamu ate tagenda kukolerera kukisanyaawo. Agambye n’abo abamuvuma balina kumuvumira munda ye talina ky’atidde.
ENKOLA Y’OBWANA OBWO SSI NNUNGI: Mpuuga era yeewunyizza obwana naddala bu Foot Soldiers obugufudde omuze okumulumbanga ku sosolo mediya, n’agamba nti kyandibadde kirungi ensonga zaabwe ne bazikwata kisajja kikulu munda mu kibiina mu kifo ky’okulabisa abantu buli kiseera, ate nga kino kittattana ekifaananyi n’omukululo gwa bammemba b’ekibiina.