Minisita Nabakooba yewera okumegga owa NUP mu kalulu ka bonna mu 2026

Bya Mugula Dan

Omuyaga gwa NUP gwakuba buli kimu wanno mu Buganda mukalulu ka 2021 naye tetwagwamu maayi twasigala tukyaweereza abalonzi kugulawundi kuluno NRM egenda kuwangulira waggulu nnyo

Ng’ayogerako n’ebanamawulire ku kitebe Ky’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM minista w’ebyettaka n’amayumba Judith Nabakooba ategeezazza nti NRM mu Buganda yeyongedde obuwagizi mu bantu era ebifo NUP byeyali yatwala kuluno bagenda kubyediza.

Nabakooba wabadde aggyayo empapula z’ okuvuganya mukamyufu k’ekibiina nawera nti kuluno akomawo mu palamenti okuteseza abantu be Mityana Disitulikiti era omubaka Joyce Bagala tamuwona.

Ono gambye nti eggwanga Uganda liyina ekiziibu Kya abantu abeyita abanene abenyigiira mukutwala ettaka dy’abanaaku kubwerere naye ebanga dy’amaze mu ofiisi asobodde okukwata abo abefula abekitalo nga batulugunya abalala.

Nabakooba ategeezazza nti bannayuganda balina okulonda NRM kuba yesobola okwanganga abagagga nabo abanene abatwala ebintu byabavu kuba bantu bakilabyeko ng’abayita abakulembeze okuva NUP tebayambye bantu.

Ate akulira akakiiko k’ebyokulonda mukibina Kya NRM Dr Tanga Odoi agambye nti banakibiina bajjubidde okuggyayo empapula okuvuganya mukamyufu n’abasaba okubera n’empiisa nga bagenda mukalulu Ekibiina ki NRM 

Tanga alabudde Ekibiina ebivuganya e NRM okusinga NUP nti kuluno tebilina lugendo kuba NRM mu kalulu 2026 egenda kuwangula wagulu nnyo kuba bannayuganda bogende okwagala NRM ne pulezidenti Museveni.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *