Mao bamuwabide mu kkooti enkulu e Mbarara

Bya Mugula Dan

Banna DP abawakanya obukulembeze bwa Norbert Mao basitudde buto enkundi.

Bano nga bakulembeddwamu Omubaka wa Bukoto Central, Richard Sebamala baddukidde mu Kkooti enkulu e Mbarara okugisaba eyimirize Mao n’olukiiko lwe okukola emirimu gy’ekibiina .

Sebamala ne banne bagamba ttabamiruka wa DP Mao mweyalonderwa n’olukiiko lwe yalimu obumenyi bw’amateeka bungi nga n’olwekyo tebakkaanya na obukulembeze bwabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *