MABIRIIZI ABIZZEEMU: AYAGALA KUTWALA NEMA MU KKOOTI LWA KUSENDA BANTU B’OMU LUBIGI

Bya namunyenews

MUNNAMATEEKA w’omu Kampala, atasiba zikweya Hassan Male Mabiriizi Kiwanuka, atabukidde ekitongole kya NEMA n’atiisatiisa n’okukikuba mu mbuga z’amateeka.

Mabiriizi agamba nti, okuva nga 10 June, NEMA ezze esengula abantu B’OMU Lubigi, okuli Nansana n’ebitundu ebirala. Kyokka abantu bano Male agamba bazze babakwata mu ngeri etyoboola eddembe lyabwe ery’obwebange eribaweebwa Katonda ne ssemateeka wa Uganda nga lino ly’etteeka ekkulu mu Lipabuliika ka Uganda.

TEMWASOOKA KWETEGEREZA OBA BALI MU NTOBAZZI OBA NEDDA: Okusinziira ku mukuku gw’ebbaluwa ya Male, anenyezza NEMA obutasooka kugenda mu bitundu by’emenya okulabira ddala nti oba ebitundu ebyo byali oba bikyali ntobazzi…abatuuze abasinga tebaaweebwa bbaluwa zibalabula, abalala bazze bakubibwa,okusobezebwako awatali ayamba, okwonoona ebintu byabwe.

Mabiriizi awunzise agamba nti mu nnaku 21, yeetaaga ebiwandiiko NEMA kweyalabulira abantu n’emisoso gyonna abyetegereze bulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *